Omubaka Nambooze Poliisi Emutadde

0
427

Kyadaaki omubaka w’ekibuga Mukono, Betty Nambooze aggyiddwa mu ddwaliro lya Gavt e Kiruddu n’atwalibwa ew’omusawo we mu Bugoloobi Medical center ayongere okujjanjabwa. Nambooze okuggyibwa e Kiruddu wabaddewo okusika omuguwa wakati wa poliisi, babaka banne n’abantu abalala nga bagamba nti poliisi yeemulemezza e Kiruddu ate ng’embeera ye eyongera kwonooneka. Poliisi emuwadde akakalu ka kutuuka nga 29 omwezi ogujja.