Besigye Asuubizza Okwekalakaasa Nate

0
845

Abakulembeze mu FDC balangiridde nti bagenda kuddamu okwekalakaasa nga bwegwali ku 2011 mu nkola ya walk to work, eyamaamira eggwanga. Bano bagamba, ekigenda okubazza ku nguudo gy’emisolo egyeyongedde mu ggwanga nga kati y’emboozi enyumizibwa buli wamu, ate nga mugugu omuzito ennyo eri bannansi. Dr. Kizza Besigye eyawatira ekibiina kino bendera mu kalulu akawedde kko nenfunda endala ssatu, yeegasse n’abakulembeze mu FDC abakulembeddwamu Pulezidenti w’ekibiina Patrick Oboi Amuriat, nebategeeza nti tebasobola kusirika busirisi nga gavumenti ebinika Bannayuganda emisolo ogwekyejo guti.