Akalulu K'e Bugiri Kabademu Amasasi

0
736

Enkambi ya munna JEEMA eyesimbyewo kukifo kyomubaka wa Bugiri Municipality Asuman Basalirwa eguddemu encukwe oluvanyuma lwo’omu kubawagizi be okukubibwa Amasasi nafa nga addusibwa muddwaliro e Jinja. Kino kyaddiridde akavuvungano wakati wa Poliisi nabawagizi ba Asuman Basalirwa akabaddewo olunaku lweggulo nga Poliisi ebakugira okukuba olukungaana ku kikibangirizi kya Busoga University ettabi lye’Bugiri.