Jamil Mukulu Alabiseeko mu Kkooti

0
762

Ssaabawaabi wa gavumenti akyusizza mu mpaaba y’omusango oguvunaanwa Jamiiru Mukulu n’abalala 37 era nga abantu basatu bajjiddwa ku lukalala lwabavunaanibwa okuli ne Dr Aggrey Kiyingi abeera mu ggwanga lwa Australia kyokka waliwo abakwate abalala babiri abagattiddwa ku musango guno. Oludda oluwaabi lutegeezezza kkooti enkulu ewozesa egya naggomola nga bwebatayinza kugenda mu maaso n’omusango guno nga abasatu abajjiddwa tebakwatibwanga.