Ebika Bya Buganda: Amatikkira Jubireewo

0
1265

Ekimu ku byawula Abaganda ku bantu abalala ze nnono zaabwe eziviira ddala ku nsibuko yaabwe. Ebika gwe musingi okwazimbirwa eggwanga Buganda era tewali muganda atalina kika mwagwa. Kati nga obuganda bwetegekera ebikujjuko by’amatikira ga Ssaabasajja Kabaka ag’emirundi 25 NBS Television etunulidde emu ku mpagi enkulu nnyo Obuganda kwebutambulira n’ebikoleddwa okuggumizza Namolondo.