Aba FDC Balina Kyebabuuza Poliisi, Mukolera NRM oba Bonna?

0
246

Bannakibiina kya FDC bakukkulumidde omukulembeze w’eggwanga olw’okuyingiriranga enkola y’emirimu gyabwe nga yeeyambisa ebitongole ebikuuma ddembe. Bano bategeezezza nti tebagenda kuyimiriza nkungaana zaabwe ez’okunoonyeza bannaabwe akalulu mu bitundu eby’enjawulo nga bwebaabadde balagiddwa poliisi mu bitundu ebimu obutakuba nkungaana ku nnaku omukulembeze w’eggwanga lw’anaabeera mu bitundu ebyo.