Aba NRM Batandise Obumyufu Bw'emiruka

0
398

Oluvannyuma lw’okulonda ba ssentebe be byalo mukalulu akabadde aka kassameeme mu bitundu bye ggwanga ebyenjawulo, abagala obwa ssentebe bwemiluka oba LCii abasoba mu 120 batandise okwesowolayo e Luweero okuvuganya nga aba kada ya NRM basisinkanye okutema empenda ku butya bwebayinza okwangana abagenda okubavuganya. Bano okusinga babadde bakyala basoose kwebuuza kubakulembeze abokuntiko okuli ababaka ba palamenti babawe ku bukodyo obuja obuyinza okubatuusa ku buwanguzi wabula abakulembeze bokuntiko babanuka nti bwebanaba bakutuuka ku buwanguzi bewale enjawukana mu byobufuzi.