Ababaka Kkooti Ebammye Emyaka Ebiri

0
668

Mu ttumbi lya leero kkooti ejulirwamu esaze eggoye ku musango gwokukwata mu ssemateeka abalamuzi bana kwabo abataano abatula ku kkooti eno bwebategezezza nti okugya ekkomo ku myaka omuntu kwakoma okwesimbawo bwekitaali kumenya mateeka era kyakolebwa mu butuufu Abalamuzi wabula bonna bataano bakkaanyizza nti ababaka okweyongezaamu emyaka 2 kyali kikyamu era bonna nebakkaanya nti kino kigobwe era ababaka baddeyo mu kalulu.