Abagoba B'amaato e Nakiwogo Bali mu Kutya

0
286

Abagoba b’amaato kumwalo Nakiwogo e Ntebe mu district y’e Wakiso bali mu kutya okutagambika olwa poliisi okunnyinyitiza ebikwekweto byayo okufuuza amaato agasaabaza abantu nga tebembadde bukooti buziyiza kubbira obumanyiddwanga life jackets. Omwalo guno guli kinnya nampindi n’ekisaawe ky’ennyonyi eky’eNtebe.