Abatuuze B'e Buvuma Balojedde Minisita Kuby'obujjanjabi

0
625

Minisita omubeezi akola guno na guli mu minisitule y’ebyobulamu Sarah Opendi akakasizza abantu b’oku bizinga by’e Buvuma nti gavumenti yaakwongera okutereeza ebyobulamu mu bizinga bino naddala ng’esuumusa amalwaliro mukaaga agali ku mutendera gwa Health Center II egatuuse ku ddaala lya Health Center III. Minisita Opendi yabadde Buvuma ng’alambula amalwaliro ag’enjawulo okulaba butya bwegaweereza Abavuma n’abayise n’okuggulawo ekizimbe ky’ennyumba z’abasawo. Abatuuze n’abakulembeze bwebalabye ku minisita nebamusindira ennaku etagambika gyebalimu naddala mu mpeereza y’ebyobulamu.