Emaali Laba Bwetokomose e Bwaise

0
677

Abasuubuzi abasoba mu 300 bukedde ababadde bakolera mu bibanda by’embaawo e Bwaise mu Idustrial zone olwaleero lukedde banjala ngalo oluvannyuma lwa nabbambula w’omuliro okudamu okukwata ebibanda byabwe n’asanyaawo emmaali yaabwe yonna. Guno mulundi gwamukaaga mu bbanga lya myaka ebiri ng’ebibanda bino bikwata omuliro embaawo zonna ne zisaanawo.