Kayihura Agamba Bamuwaayiriza

0
642

Eyali Ssaabaduumizi wa poliisi Gen. Kale Kayihura omukwate ayanukudde abazze bamujwetekako obujulizi obwekimpatiira ku misango emiyiiye naddala mu bitongole ebikuuma ddembe. Kayihura nga ayita mu bapuliida be aba Kampala Associated Advocates akakasizza nga abamu ku bakulu mu bitongole ebikuuma ddembe bwebeekobaana nebamukonjera amafuukule, ye kyalabamu ekigedererwa eky’okwonoona erinnya lye mu bantu.