Lukwago ne Beti Kamya

0
941

Kooti enkulu etuula ku TWED Towers ewakanyizza okukunya minisita wa Kampala Betti Kamya nga okusaba kwa loodi meeya Erias Lukwago bwekwaali gyebuvuddeko ku bigambibwa nti minisita Kamya asusse okwekiika mu mirimu gya loodi meeya Lukwago. Okusinziira ku kusalawo kwa kooti eno okusomeddwa Omulamuzi Henrietta Wolayo, minisita Kamya tayinza kukakibwa kujja mu kooti okujjako nga yeerese yekka nga 31st ogw’omunaana omwaka guno kooti eno lwenaddamu okutuula.