Okuteesa Kwa Uganda Kujja, Buganda Waakuyambako – IRCU

0
837

Mu kaweefube w’okutegeka n’okussaawo okuteesa mu ggwanga, olukiiko olutaba enzikiriza mu gggwanga lusabye obwakaba ka bwa Buganda okuluyambako mu kulaba nga enteeseganya zino zibeerawo kisobozese eggwanga okutambulira awamu
Olukiiko luno olwa Inter Religious Council of Uganda luludde nga lwagala wabeewo okuteeseganya naddala ku ludda olwebyobufuzi ku ntambula y’ebintu mu ggwanga nga lulowooza kino kyekigenda okuzza eggwanga ku luguudo naye ne gyebuli eno kino kibadde tekinnakolebwa