Omubaka Nambooze Bamututte Buyindi

0
579

Omubaka w’ekibuga Mukono, Betty Nambooze kyaddaaki agenze mu Buyindi okwekebejjebwa abasawo be oluvannyuma lw’ebyuma ebyamussibwa mu mugongo okufuna obuzibu. Nambooze abadde mu bulumi agenze awera kuwawaabira gavumenti gyagamba nti yamutulugunya newankubadde yetaagibwa okulabikako ku police ya CIID nga 29 omwezi guno .