Ekitta Bakazi Kizzeemu Nate

0
759

Abatuuze ku kyalo Wambale mu municipaali y’e Nansana bamaze ennaku 5 nga banoonya omuwala Hellen Nakiyingi eyababulako era mu kiro ekikeesezza olwa oleero, kibaweddeko bwebasanze omulambo gw’omugenzi nga gwaziikibwa mu nju ya muganzi we ekiteeberezesezza abatuuze nti yandiba nga yattibwa muganzi we. Omugenzi azuuliddwa poliisi ya flying squad ng’eri wamu n’abatuuze era kumuliraano awazuuliddwa omufu wasangiddwaawo amasabo.