Museveni Asiimye Abajaasi Abamukuuma

0
794

Omukulembeze w’eGgwanga atendereZza abajaasi abamukuuma aba SFC olw’omulimo amakula gwebaakola okuzza embeera mu nteeko bweyalumbibwa abawagizi b’omubaka wa paalamenti omulonde owa Arua Minicipality Kassiano Wadri n’abomubaka Robert Kyagulanyi owa Kyadondo East. Bweyabadde asisinkanye akabondo k’ababaka ba NRM mu maka g’obwa presidenti Entebe ekiro olweggulo lwa jjo ku Bbalaza, omukulembeze w’eggwanga yategeezezza nti abajaasi ba SFC baakozesa okukugu bwa maanyi nebatakuba bantu masasi bwebaakuba mmotooka ye amayinja bweyali agenze okusabira Munna-NRM Nusura Tiperu akalulu.