Paalimenti Erinze Pulesidenti Museveni Okuddamu Ebbaluwa ku ba Bobi Wine

0
794

Paalamenti ewadde president Museveni ennaku biri okuddamu ebaluwa eyamuwandikiddwa Sipika Rebecca Alitwala Kadaga nga ayagala okumanya abamagye abagambibwa okukuba omubaka Bobi wine ne banne emigo. Ababaka bano ababadde abakambwe enyo bagaanyi okuteesa okutuusa nga bannyonnyoddwa baani abaakuba babaka bannaabwe ekiwalirizza amyuka sipika Jacob Oulanya okuyimiriza entula za paalamenti okutusa wiiki ejja.