Abaana Ba Geto Beekubidde Enduulu lwa Bobi Wine

0
917

Ab’enganda ne bannamateeka b’omubaka wa Kyaddondo East, Robert Kyagulanyi baddukidde mu kakiiko k’eddembe ly’obuntu kabayambeko okuzuula waali oluvannyuma lw’okulemererwa okumuwuliza okuva lweyakwatibwa ennaku kati ssatu e mabega. Akakiiko kasuubizza okufuuza abanaakwatibwa nga baatuusa obuvune ku Kyagulanyi ne banne 30 abakyali mu mikono gyabakuuma era nti baakuvunaanwa ssekinoomu mu mbuga z’amateeka.