Ababaka ba Buganda Bafunywe Obusungu

0
329

Ababaka ba paalamenti abeegattira mu kabondo ka Buganda Parliamentary Caucus amagye g’eggwanga gabagaanye okulambula munnaabwe owa kyadondo East Robert Ssentamu Kyagulanyi ali mu nkambi y’amagye e Makindye.
Oluvannyuma lw’okulemesebwa ababaka bano nga bakulemberwa Ssentebe w’akabaondo ka Buganda Muyanja Ssenyonga boogeredde gavumenti emisongovu nga beebuuza lwaki balemesebwa amagye okugenda okulaba munabwe ali mu bulumi.