Abalonzi e Jinja Bakaayukidde Gavumenti lwa Bobi Wine

0
477

Abalonzi ba Jinja East basabye gavumenti okuggya emisango gyonna era eyimbule Omubaka waabwe Paul Mwiru n’omubaka Kyagulanyi Ssentamu n’abantu abalala bebaabasiba nabo awatali kakwakkulizo konna. Bano bagamba ebbanga gavumenti ly’enaamala ng’esibye omubaka waabwe ebirowoozo byabwe tebijja kutuuka mu Palamenti, era gavumenti bagiwadde okutuusa Olwokuna lwa week ejja ng’eyimbudde abantu bonna abaakwatibwa ku byekuusa ku kalulu akaabadde Arua, oba ssi kyo Baakukolawo akatiisa.