Abapoliisi Babiri Bakwatiddwa e Mityana

0
1182

Police ekutte basajja baayo babiri e Mityana abagambibwa okuba nga beebakubye amasasi mu bantu omu naafa e Mityana n’abalala bataano nebagenda nebisago ebyamanyi. Wabula omwogezi wa Poliisi, Emiran Kayima tabuulidde bannamawulire wa poliisi wetuuse ku kunoonyereza ku batta Yasin Kavuma eyali avuga omubaka wa Kyaddondo East eyakubwa amasasi mu Arua week ewedde.