Ab'enganda ba Kyagulanyi Tebamanyi Gyali

0
721

Ab’oluganda lw’omubaka wa Kyaddondo East, Robert Kyagulanyi Ssentamu bawadde Gavt essaawa 48 okuleeta omuntu waabwe mu kkooti bwaba alina omusango gweyazizza oba ssi kyo ayimbulwe nga tebannakunga Bannayuganda kweyiwa ku nguudo kwekalakaasa. Omubaka Kyagulanyi yoomu ku bantu abaakwatiddwa mu Arua nga bagambibwa okuba nga bebaaduumira abantu abaakuba emmotoka y’omukulembeze w’eggwanga ejjinja eryagiyiwa endabirwamu y’emabega. Nabakooza Lydia yaalina ebisingawo.