Atamanyi Misinde ku Luno Agiyize

0
705

Emirimu n’ebyentambula bisanyaladde wakati mu kibuga kamapala ng’amagye ne poliisi balwana n’abantu abakedde okwegunga nga bawakanya okukwatibwa kw’omubaka wa Kyaddondo East Robert Kyagulanyi n’abalala abali mu nkomyo. Abeebyokwerinda babanukuzza, kibooko, masasi na Tear Gas era okukkakkanga nga bangi bakwatiddwa ate ng’abasuubuzi abaduuka bawaliriziddwa okuggaggala ne balagirwa okudda eka.