Bobi Wine Asimbiddwa mu Kkooti Y'amagye

0
897

Omubaka wa Kyaddondo East mu paalimenti era omukulembeze w’ekisinde kya People Power Robert Kyagulanyi Ssentamu oba Bobi Wine aleeteddwa mu kkooti y’amagye olw’eggulo lwa leero, n’aggulwako emisango gya kusangibwa na mmundu, oludda olumuvunaana nga lugamba nti yamenya etteeka lya UPDF erya 2005 erigamba nti ebyokulwanyisa bino birina kubeera na ggye lya ggwanga erya UPDF. Kkooti eno etudde Gulu era neekubirizibwa ssentebe waayo Lt. Gen. Andrew Gutti, kyokka abantu ba Bobi Wine bonna tebakkiriziddwa mu lutuula luno okuggyako ba puliida be babiri okubadde Asuman Basalirwa ne Merdard Lubega Sseggona. Oluvanyuma Kyagulanyi asindikiddwa mu nkambi y’amagye e Makindye yeebakeyo okutuusa nga 23 omwezi guno nga lwe lunaku olw’okuna olwa wiiki ejja okudda mu kkooti era nga kuluno kkooti esuubizza nti yaakutuula Makindye. Robert Kyagulanyi Ssentamu yakwatibwa nga 14 omwezi guno oba ku lw’okubiri lwa wiiki eno oluvanyuma lw’akavuvungano akaali mu Arua, abawagizi ba bannabyabufuzi bwebaalwanagana wakati mu luguudo nga n’emmotoka z’omukulembeze w’eggwanga zitambulira ku luguudo lwerumu olwo, lwo kigambibwa nti emmotoka zino zaakubwa amayinja. Mu kunoonya bonna abagambibwa okukulira kino ne bobi wine bweyakwatirwa kyokka oludda oluwaabi lulumiriza nti awo baamusanga n’e mmundu mu wooteeri gyeyali apangisizza okusulamu naabantu be. Emmundu zino kuliko SMG nnamba; 56-4801247 n’endala nnamba; UE 0471-1998 ko naamasasi