Buganda Etumye Ababaka Ewa Bobi Wine

0
818

Obwakabaka bwa Buganda buli muntekateeka y’akulambula abasibe abakwatibwa mu Arua nga 13th omwezi guno okuli n’omubaka wa Kyadondo East Robert Kyagulanyi. Okusinzirria ku mwogezi w’Obwakabaka Owek. Noah Kiyimba, abakungu ba Kabaka nga bakulembeddwamu omumyuka wa Katikiro asooka Owek. Emmanuel Ssendawula bakyaddeko mu maka ga Kyagulanyi e Magere ku lw’okutano lwa sabiiti eno nga waliwo n’ekibinja ekyakulmberwamu omukubiriza w’olukiiko lwa Buganda Okwel. Nelson Kawalya abalambula omubaka Zaake mu ddwaliro e Rubaga.