“Emmundu za Bobi” Gavumenti Ezirina

0
690

Abakulira ebitongole byebyokwerinda mu Gwanga batuziiza olukungaana lw’abanamawulire nebalabula banayuganda obutamala gakozesa mikutu gimugatta bantu nga basaayo obubaka obusasamaza era obussa ebyokwerinda bye gwanga mu katyabaga. Mu lukungaana lwelumu amagye gategezeza nti kooti yamagye okuva ku kyokuvunana omubaka kyagulanyi omusango gwokusangibwa n’emmundu mungeri emenya amateeka tekitegeeza nti gwavuddewo, gukyayinza okuddira mu kooti endala.