Eyanwedde Endingi Tazuukuse

0
252

Abatuuze b’e Ssumbwe -Bulenga mu District y’e Wakiso bamaze essaawa kumpi ssatu nga batubidde n’omulambo gw’obuvubuka Jamil Sekitoleko ow’emyaka 23 oluvannyuma lwa polisi y’e Buloba okulererwa okuguddukira, yadde nga sentebe w’ekyalko yagyikubidde essimu wabula n’ekamutema nti erina mafuta. Omugenzi Jamil Sekitoleko asangiddwa ng’afiiride mu nnyumba wabula ng’eccupa z’omwenge zimwetolodde.