Lukwago ne Banne Babasibidde Waka

0
676

Poliisi ekedde kuzinda maka ba babaka ba Paaliyamenti abenjawulo wakati mu kubatangira okugenda mu kkooti e Gulu n’ebifo ebiralala ebibadde bisubirwa okubaamu okkwekalakaasa nga omubaka wa Kyadondo Bobi Wine Kyagulanyi Ssentamu awerenemba n’emisango egyenjawulo okuli ogw’okulya munsi olukwe. Tutuuseko mu maka ga babaka abenjawulo netuusanga nga balagana olwa Poliisi okubasibira mu maka gaabwe era kubyalo ebimu ababaka bano gyebawangalira poliisi ekubyeyo tiiya gaasi okugumbulula abatuuze .