Mu Ghetto Basanyukidde Ebivudde e Gulu

0
376

BannaKamwokya basiibye bajaganya oluvanyuma ola kkooti enkulu e Gulu okukkirizza Robert Kyagulanyi ne banne abalala bonna okweyimirirwa.
Abavubuka nga bebaduumidde okujaguza kuno baweze nti wadde nga abamu ku bbo bakwatibwa mu ngeri etali nnambulukufu nga bwegwaali ku kanyama wa Kyagulanyi amanyikiddwa nga Eddie Mutwe sabiiti ewedde, sibaakuva ku bigendererwa byabwe.