Obunkenke mu Kibuga Lwa Bobi Wine

0
348

Emirimu gisanyaladde mubitundu ebyenjawulo mu kibuga Kampala nga kivudde kubakuumaddembe abakkedde okukyebungulula ekiwaliriiza abasubuzi okugalawo amadduka gaabwe. Mukatake ke Wakiseka tiyagaasi namasasi byebikubiddwa okugumbulu abasubuzi ababadde abatabukidde omusikale Aberi Kandiho akulira ekitongole kya CMI nga bamubuuza lwaki bazeemu okukwata Bobi Wine.