Weegendereze Abakuli ku Lusegere-Nadduli

0
401

Minisita atalina mulimu gwa nkalankalira Al Hajji Abdu Nadduli alubudde Presidenti Museveni okwegendereza abantu abamuli ku lusegere mbu bebaagala okuvuunika gavumenti ye sso ssi abo abaali kuludda oluvuganya gavumenti. Nadduli era awabudde Bannayuganda nti omubaka wa Kyadondo East Robert Kyagulanyi tebamutuunira nnyo kuba akyalli olugendo luwanvu nnyo bwaba alina ekirowoozo eky’okukulembera Uganda.