Ebyokwerinda Bizibu mu Mugotteko e Kisenyi

0
911

Oluvannyuma lwa bassentebe b’ebyalo ebikola amasekkati ga Kampala okulayizibwa, waliwo essuubi nti obukulembeze bwabwe y’entandikwa y’okuziba emiwatwa omuyitira obuzzi bw’emisango naddala mu kitundu ebirimu omugotteko.
Ebitundu nga Kisenyi, Kamwokya ne Nakulabye byebimu ku bikulembera enkalala z’obumenyi bw’amateeka obwa buli kika okuva ku misango egyekuusa ku butujju, effujjo, obubbi, n’obumenyi bw’amateeka obulala. Awo nno twogeddeko n’abakulembeze abaggya ku bikwata ku byokwerinda by’ekibuga ku mutendera gw’ebyalo.