Besigye Akubagizza Ab'ewa Kirumira

0
921

Eyali senkaggale wa FDC Dr Kiiza Besigye ku makya ga leero agenze mu maka g’omugenzi Muhammad Kirumira okukubagiza, era eno gy’asinzidde n’ategeeza nti obutali butebenkevu eyinza obutaggwaawo singa obuyinza busigala mu mikono gy’abantu ab’olubatu. Abatuuze ku kino eky’e Bulenga bo beekokkola abebyokwerinda bebagamba nti babalemesa okukyalako mu maka g’omugenzi okukubagiza.