Uganda Ejjudde Obunkenke Baaba!

0
693

Abatuuze b’e Masajja mu munisipaali y’e Makindye Ssaabagabo mu disitulikiti ey’e Wakiso basula ku tebuukye lwa bubbi obusitudde enkundi mu kitundu kyabwe, nga kati tekyali yeebaka kubulizaako anti oyinza okuzuukuka nga eby’omunju lwayaba.
Mu bbanga lya mwezi gumu gwokka, amaka agasoba mu kkumi gegayingiriddwa abazigu, abalumya abaamu kko n’okukuulita n’ebintu byabwe.