Tewabaawo Asamaala mu Madda ga Bobi Wine – Poliisi

0
967

Poliisi efulumizza enteekateeka ezigenda okugobererwa mu kudda kw’omubaka wa Kyaddondo East, Robert Kagulanyi Ssentamu asuubirwa okudda kuno olunaku lw’enkya. Okusinziira ku nteekateeka ekoleddwa omubaka Kyagulanyi waakwanirizibwa ba munju ye bokka e Ntebe olwo poliisi emuwerekere butereevu okutuuka mu makaage e Magere- Kasangati. Naye kino omubaka Kyagulanyi akiwakanyizza ng’agamba nti teyetaaga kumuwerekera kuba amanyi ekkubo erimutuusa ewuwe.