Aba DP Batabukidde Mbidde

0
658

Enkaayana mu kibiina kya Democratic party zeeyongedde abamu ku bannakibiina kino bwe beesowoddeyo ne balumiriza amyuka ssenkagale w’ekibiina kino Denis Mukasa Mbidde okutabula ekibiina. Banna DP bano bagamba Mbidde enakuzino yefunyiridde okusiga obukyayi mu bendobendo ly’e Masaka n’okuvumirira ababaka abatono bebalina mu bintundu by’e Masaka era nga bwewatabeerawo magezi gasalibwa mu bwangu ekibiina kyolekedde okufiirwa ebifo ebiwerako e Masaka.