Amasiro Galiko Wegatuuse

0
739

Katikiro wa Buganda Charles Peter Mayiga alambudde omulimu gwokuzimba amasiro era n’akakasa obuganda ngokusereka bwekugenda okuba nga kuwedde omwaka guno wegunaggweerako. Amasiro ga bassekabaka ba Buganda gano agaali ku mutindo gwebyobuwanga ebikuumibwa ku mutendera gwensi yonna gaakwata omuliro mu gwokusatu gwa 2010 nga kati gyemyaka munaana emabega gyegakamala nga gaddamu okuzimbibwa.