Poliisi Ekola Etya Kati?

0
797

Engeri poliisi y’eggwanga gyetandise okweyisaamu ng’ekkakkanya abantu naddala nga waliwo obwegugungo etandise okwewuunyisa Bannayuganda olw’okukendeereza ddala eryanyi eryali limanyiddwa. Okusiinzira ku mwogezi wa poliisi ya Uganda, Emirian Kayima, kati kyangu okulodoola basajja baabwe ababa beenyigidde mu bikolwa ebitulugunya abantu kuba buli ekibaawo bakiraba ku mikutu gya ttivi ne mugatta bantu.