Aba FDC Balabudde Mwiru

0
386

Banakibiina kya FDC e Jinja balabudde omubaka wa Jinja East Paul Mwiru nti bwa banga akyayagala okubeera mu palamenti aveeyo atangaze eggwanga wa wayimiridde kunsonga yokwegatta ku eyali pulezidenti wekibiina kya FDC Mugisha Muntu. Bano nga bakulemberwa Ssentebe wa FDC mu Bitundu bino Abubaker Maganda bagamba olunaku lweggulo balabye Paul Mwiru nga yeetabye mulukungana lwabanamawulire Mugisha Muntu lweyatuzizza ku Africana ngalangirira mubutongole nga bwavudde mu FDC. Kati bano baagala Mwiru abababulire Wa wagwa .