Ababaka ba NRM Balumbye Bobi Wine

0
521

Ababaka ba NRM abava e Busoga batandise kawefube w’okunafuya ekisinde kya People Power mu kitundu gyebava era nebeewera okukola buli ekisoboka okukivuganya.
Bano nga bakulemberwa Omubaka wa Jinja West Moses Grace Balyeku bagamba si bakukkiriza ekitundu ekibiina kya NRM mwekibadde kisinga okufuna bululu kugenda mu mikono gy’aba People Power.
Bano batandise okutabaala Busoga nga boogera n’abavubuka engeri y’okutandikawo emirimu era nebabakuutira obatawudiisibwa mubaka wa Kyadondo East Robert Kyagulanyi kwegatta ku people power.