Ababaka Batabukidde Amagye

0
902

Akakiiko ka paalamenti ak’ebyokwerinda n’ensonga zomunda mu ggwanga kayise ba Minisita b’ebyokwerinda n’omuduumizi wa UPDF Gen. David Muhoozi babanyonyle lwaaki amagye gaatimpudde abantu emiggo e Kasangati olunaku lw’eggulo nga badduka okwaniriza omubaka waabwe, Robert Kyagulanyi. Ababaka abatuula ku kakiiko kano era bagambye nti bagala ne minisita akola ku butebenkevu bwegwanga Gen. Elly Tumwiine atwalibwe mu kKooti y’amagye ku bigambo byeyayogedde nti awagira amagye okukozesa emiggo okutimpula abeekalakasi.