Ababaka B'eKenya Bawabidde Amagye Gaffe

0
419

Sipiika wa palaamenti Rebecca Alitwala kadaga ayise Ssabaminista Dr Ruhakana Rugunda mu palaamenti olunaku lwenkya annyonnyole ebigambibwa nti abajaasi b’eggye ly’eggwanga erya UPDF bongedde okusiiwuuka empisa nga batulugunya abantu abatalina musango. Kadaga agambye nti okulaga nti UPDF esiiwuuse empisa enakuzino yafunye n’okwemulugunya okuva mubabaka ba palamenti y’ekenya nti eggye lino lituuse n’okuyingiramu Nyanja kumuliraano mu Kenya ne baliisa bavubi baayo akakanja.

TagsUPDF