Ababaka Olunwe Balusonze mu Bagyenda

0
313

Ababaka ba paalamenti abebagatila mumukago ogulwanyisa obuli bwenguzi ogwa African Parliamentarians against corruption belayiridde okulemesa omukyala Justine Bagyenda eyalondeddwa okuba ku kakiiko akafuzi akekitongole ekilwanyisa okukozesa obubi ensimbi ekya Financial intellengence Authority. Ababaka bano nga babadde betegese okwekalakasiza ku palaamenti nga omukyala ono azze mukakiiko okukakasibwa bagambye nti tebasobola kukiriza muntu atasasula misolo, ate alimukunonyerezebwako kalisoliso wa gavumenti kukakasibwa kukitongole nga kiino.