Abajaasi Abaakuba Abantu Emiggo Mbu Ssi Ba Wano

0
384

Minisita omubeezi ow’ebyokwerinda, Col. Charles Okello Egola agambye nti abajaasi abazze balabibwako ku ntimbe za TV nga batimpula abantu emiggo ssi bannayuganda wabula Ba Nigeria. Bwabadde alabiseeko mu kakiiko ka palamenti akakola ku byokwerinda n’ensonga ezomunda mu ggwanga Minisita agambye nti beetegerezza ebifaananyi ebiragibwa ku ttivi za Uganda ne bakizuula nti bigattirirwa bugattirirwa kyokka ng’abaserikale abalimu ssi ba UPDF