Abakola Ewa Pulezidenti Bakugu Ekimala?

0
391

Bannayuganda baasigadde beebunaganya bwebaawulidde nti president Museveni teyafuna bbaluwa eyamuwandikirwa sipiika wa paalamenti Rebbeca Alitwala Kadaga okunnyonnyola ku neeyisa y’abajaasi be abaakuba abantu mu Arua okwali n’ababaka ba paalamenti. Wabula okusinziira ku eyaliko munnamawulire wa president, Tamale Mirundi agamba nti ebbaluwa eziweerezebwa pulezidenti Museveni nezitatuuka ssi kipya nga kiva ku bantu abassibwa mu woofiisi mwebataja.