Abatuuze Bayokyeza Emmotoka e Nansana

0
313

Abatuuze b’e Nansana okuliraana Yesu amala mu disitulikiti y’e Wakiso bavudde mu mbeera ne bateekera emmotoka ya munnaabwe Gerald Kayondo omuliro, nga bamulanga kukuba mugoba wa takisi kakumbi ku mutwe lwa kukulubula mmotoka ye. Ababaddewo ng’enjega eno egwawo bagamba, omugoba wa takisi ategeerekese nti ye Serugo Richard abadde avudde mu mmotoka okwetondera Kayondo kyokka tamuganyizza, n’amumalirako essungu.