‘Abebijambuya' Babadde mu Kkooti Y'amagye

0
771

Abamu ku bantu abaakwatibwa e Masaka nga bateeberezebwa okuba abamu ku babbanga emmundu n’okutta abantu mu kitundu kino bagguddwako emisango ena mu kkooti y’amaggye e Makindye okuli okubba emmundu, okuzibbisa n’okutta abantu. Abakwate omusanvu abakulemberwamu eyali mu nnamaggye ku ddaala lya kkopolo Kiwanuka Paul basindikiddwa ku alimanda e Luzira okutuusa nga ennaku z’omwezi 25 omwezi guno.