Akulira Abavuganya Alina By'asuubira mu Kwogera kwa Pulezidenti

0
469

Akulira oludda oluvuganya Gavumenti Betty Aol Ochan agamba nti bujja kuba bulyazamanya bwenyini singa omukulembeze we Gwanga anagaana okwogeera ku bikolwa ebibi ebyokutulugunya abantu nadda mu kuwaana amagye. Ono era ayagala omukulembeze abulire egwanga ensi wa gyeraga kuba kati buli kimu kifuuse kawereege nga dya lyabukulu kuba nebikozesebwa mu bulamu bwabulijjo tebikyagulikikako. Omukulembeze wakwogera eri banayuganda olw’enkya.