Amatikkira G’obwakyabasinga

0
514

Olwaleero obusoga bukungaanidde ku kisaawe ky’essaza ly’e Bugweri okujaguza amatikkira ga Kyabazinga wa Busoga William Wilberforce Gabula Nadiope Iv, nga gano ga mulundi gwa kuna. Amatikkira gano geetabiddwako ebikonge ebyenjawulo okuva mu bwakyabazinga kko gavumenti eyawakati kwossa bannaddiini. Omukulembeze w’eggwanga obubaka bwe abutisse mumyuka we Edward Kiwanuka Ssekandi, era naavumirira nnyo abakulembeze abaamusooka abatassa kitibwa mu bukulembeze bwa nsikirano.